Show simple item record

dc.contributor.authorKityo, Andrew
dc.contributor.authorAuma, Teddy
dc.contributor.authorNandawula, Mary Teddy
dc.contributor.authorNakajjubi, Shadiah Mariam
dc.date.accessioned2024-03-07T08:39:27Z
dc.date.available2024-03-07T08:39:27Z
dc.date.issued2023-12
dc.identifier.citationKityo, A (2023). Okwekennenya enneeyisa y'abayizi mu byomukwano ku ssetendekero Makerere (Unpublished undergraduate dissertation). Makerere University, Kampala, Ugandaen_US
dc.identifier.urihttp://hdl.handle.net/20.500.12281/18549
dc.description.abstractAmawanga mangi mu nsi yonna galina engeri gye gatwalamu ensonga y’omukwano ng’ensi nnyingi buli emu erina emyaka egy’essira omuntu we bamusuubirira okutandikirako okwenyigira mu nsonga z’omukwano okusinziira ku nnono, obulombolombo, amateeka n’empisa z’amaka ez’enjawulo. Mu nsi z’ebweru tewali myaka gy’assarira muntu walina kutandika kwetaba mu nsonga z’omukwano, naye okutwaliza awamu kisuubirwa nti waliwo emyaka egisuubirwa omuntu walina okutandika okwetaba mu nsonga z’omukwano okutandikira ku myaka kkumi na mukaaga okutuuka ku myaka kkumi na munaana egy’obukulu. Ate ne ku lukalu lwa ssemazinga Afirika nayo amawanga gaayo tegalina myaka gy’assarira nga bwe kiri mu Bulaaya. Naye bw’otunuulira Yuganda, emyaka omuntu gy’atandikirako omukwano giyinza okwawukana nnyo okusinziira ku muntu kinnoomu by’ayagala, obuwangwa bwe, n’empisa z’amaka. Mu Yuganda, empisa z’okuganza ziyinza okukwatibwako enkola z’ennono n’enzikiriza z’ekitundu. Wadde ng’abantu abamu bayinza okutandika okuganza nga bali mu myaka gyabwe egy’obutiini oba egy’amakumi abiri, abalala bayinza okusalawo okutandika okuganza oluvannyuma. Kikulu nnyo okulowooza ku bwetegefu bw’omuntu, okukkiriza, n’empisa z’obuwangwa ng’osemberera okuganza mu nsi yonna. Ng’okusinziira ku Stephen B.Levine (2005), agamba nti omukwano maanyi ga butonde agalimu okwewaayo, agalimu ebiruubirirwa eby'omukwano ate era omukwano si mpulira ya muntu omu nti empulira eno ebeera mu bantu babiri, teri nga nnaku, teri nga nnugu, teri nga kikulumiriza, teri nga embeera zonna ezitera okubeera mu mpulira ey'omuntu omu.en_US
dc.language.isootheren_US
dc.publisherMakerere Universityen_US
dc.subjectStudent's behaviouren_US
dc.subjectLove affairsen_US
dc.titleOkwekennenya enneeyisa y'abayizi mu byomukwano ku ssetendekero Makerereen_US
dc.typeThesisen_US


Files in this item

Thumbnail

This item appears in the following Collection(s)

Show simple item record